Nakooye okumira amalusu nange Nakooye okutunuulira abo abalina abaabwe Nebasolobeza nga nze bwensaalirwa Nasobose omugga gw’abaalemwa Nengobera kulukalu lwaabo abawanguzi Kati nange bwentuula mu bantu mpulira njaamu Byona byona byebabadde bansuubiza Ensi n’eggulu olwo nendoba Mbifunidde mu kino etitereke ky’omukwaano
(Chorus) Oli wange (Ne bwebananvuma) Oli wange (Ne bwebanankub’emiggo ne bangobera wabweeru) Ngenda naawe Oli wange (Ne bwebananvuma) Oli wange (Ne bwebanankub’emiggo ne bangobera wabweeru) Ngenda naawe
[Verse 2] Kati mukwano nno tuula ogume okakkane Nze omanyi ndiba wuwo kiro na misana Endowooza n’omutima gwange siribikyuusa Buli wonjagalira mukwano ndibeera awo wooli Ebikuluma ng’ombuulira nange nkubuulire ebyange Akaseko akalungi ku maaso ago tokamalangako bwooba oli eyo Kimanye nti nange eno gyendi nsigala nkalinze mukwano
No comments:
Post a Comment